Leviticus 16

Omukolo ogw’Okutangiririra

1 aAwo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama. 2 bMukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira. 3 cNaye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa. 4 dAnaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala. 5 eEra anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.

6 f“Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge. 7Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 8Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango. 9Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona. 10 gNaye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.

Ekiweebwayo olw’Ekibi ekya Kabona n’Abantu

11 h“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi. 12 iAnaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi. 13 jAnassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa. 14 kAnaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.

15 l“Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo. 16 mMu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 17Mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. 18 nEra anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto. 19 oKu musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.

Embuzi Esibibwako Omusango

20“Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu. 21 pAnaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo. 22 qEmbuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.

23 r“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo. 24 sAnaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre. 25Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.

26 t“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. 27 uEnnyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga. 28Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.

Olunaku olw’Okutangiririra

29 v“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, 30 wkubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. 31 xLunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna. 32 yKabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu, 33 zn’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.

34 aa“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.”

Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Copyright information for LugEEEE